Skip to content Skip to footer

Emikolo gy’Empango gya wiiki eno

Bya Ritah Kemigisa

Obukama bwa Tooro buli mu ketalo okutegeka emikolo gyamattikira G’omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru, agomulundi ogwa 24.

Emikolo gino gino ejimanyiddwa nga “Empango” gyakubaawo ku Lowkuna lwa wiiki eno nga 12 Sebutemba mu Lubiri lwe Karuziika mu kibuga kye Fort Portal.

Omukama Oyo kinajjukirwa nti yatuzibwa ku Nmsaulondo yaba jajja be mu mwaka gwa 1995 oluvanyuma lwokufa kwa kitaawe Omukama David Mathew Olimi Kaboyo II.

Ono ye Omukama wa Tooro owomulundi 9.

Kati omumyuka wa minisita webyamawulire mu Bukama, Vincent Mugume agamebye nti bingi byebategese okukola ebigenda okukulemberamu emikolo gy’Empango okuli nomupiira.

Ku lwokusattu lwa wiiki eno, omukama wakutongoza kwefube gwebatuumye Save River Mpanga n’ekigendererwa okutaasa omugga Mpango.

Leave a comment

0.0/5