Bya Ruth Anderah.
Agava mu kooti galaga akakiiko akatekebwawo omukulembeze we gwanga bwekatandise okuluma, nga leero akulira eby’okutekatekera ekibuga kye Kasangati Herbert Kavuma bwakaligiddwa ku misango egw’okujja ensimbi emitwalo 720, 000 ku Allan Asiimwe nga amulimbye okumuwa plan y’enyumba.
Obujulizi obuleteddwa bulaze nga Kivuma ono bweyasooka okufuna emitwalo 400,000 ,wabula nga ono Asiimwe yazimuwa nga katego okuva mu kakiiko aka State House Anti-corruption unit akakulirwa munamajje Edith Nakalema.
Kati wano akakiiko kano wekaasinziira nga January 17th 2019, nekakwata kavuma nga kasinziira ku sente ezaali enambe zekaamuwa.
Ono leero asimbiddwa mu kooti y’omulamuzi w’edaala erisooka mu kooti ekola ku balyake Moses Nabende .