Bya Juliet Nalwooga.
Ministry ekola ku by’obulamu erangiride nga bwegenda okutandika okugema abantu ekirwadde kya Chorela, nga eno entekateeka etandikira Hoima.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire akola ku by’obulamu eby’omubitundu Dr Jesica Nsubuga agambye nti kawefube ono agenda okusinga kutekebwa mu bifo 11 ewali ekibondo kya cholera gamba nga Kampala, Moyo, Arua, Kasese, bulisa, Nebbi, Pakwach newalala.
Ono agambye nti kati bakola ku ntekateeka ya myaka 5 egigenderedwamu okulwanyisa cholera mu gwanga lyonna.