Skip to content Skip to footer

Abayizi Bakoledde Kamunyu akabaga

Bya Damalie Mukhaye

Wabaddewo katemba ku ttendekero ekkulu e Makerere, abayizi bwebakoze akabaga nga bawagira abadde ssentebbe wekibiina kyabasmesa Prof. Deus Kamunyu gwebagoba.

Bano nga bakulembeddwamu kalaani waabwe ku lukiiko lwabayizi Danson Twesigomwe era balangiridde kwefube okuwagira Kamunyu.

Bano bagamba nti kituufu e Makerere tewakyaliwo ddembe lya kweyogerera, ngayogerako gwebakuba ku nsolobotto, ate mungeri ya bukambwe.

Wabula omumyuka wa ssenkulu Prof Banabaso Nawangwe, bweyali agoba Kmaunyu nabalala yategeeza nti bano basiwuufu ba mpisa nga tebassa na kitiibwa mu bakulembeze.

Bino webijidde nga nabasomesa bassa wansi ebikola nga bawaknya ekyokugoba banaabwe.

Leave a comment

0.0/5