Oluvanyuma lw’abatuuze abasoba mu 1500 okuva mu byalo 5 okwekubira enduulu ku kibba ttaka mu disitulikiti ye Kalungu, ekitongole kya poliisi eky’ebyettaka kibiyingiddemu.
Ebyalo ebikukuluma kuliko Kikonda, Natitta, Kawule, Lwenswera ne Kawembero .
Kino kiddiridde nanyini ttaka Samuel Kasule okugaana okutwala obusuulu bw’abali ku ttaka lino n’ekigendererwa eky’okubagoba ku ttaka lino.
Mu nsisinkano gyebabaddemu ne poliisi, abakulembeze b’amagombolola okuli e byalo bino baategezezza nga abatuuze bwebatanagaana kusasula busuulu wabula nanyini ttaka ayagala kubagobaganya.
Ye omubaka wa Kalungu West Joseph Ssewungu Gonzaga agamba nanyini ttaka amenya mateeka okwagala okunyigiriza bananyini bibanja kale kwekusalawo okubiyingiramu.
Omwogezi w’ekitongole kya poliisi eky’ebyettaka Emiriano Kayima ategezezza nga poliisi bweyagala okukendeeza ku bantu abagobwa ku ttaka.