Eyali akulira akakiiko akalwanirira edembe ly’obuntu Margret Ssekajja asabye bannayuganda okwewala okutunda obululu bwabwe wamu n’okulonda bannabyabufuzi ababagulirira n’obutole bwa Sabuni.
Ssekajja agambye nti okulonda okuzze kubeerawo mu ggwanga kujuddemu kugulirira abalonzi, ekiviiramu okulonda abantu abatalina mugaso eri eggwanga.
Ssekajja asabye abantu okubuuza bannabyabufuzi kyebabakoledde mu myaka 5 emabega nga tebanaba kuddamu kubalonda.
Ono era alaze obwenyamivu olwebikolwa byobulogo wamu n’obusezi ebikyase naddala mu disitulikiti ye Rakai.