Bya Gertrude Mutyaba,
Abadde yeesimbyewo okuvuganya ku kifo kya sentebe mu district ye Bukomansimbi ku card ya DP awanduse mu lwokaano.
Yiga Holix Muwonge olwaleero lwakakasizza nga bwalekedde munna NUPnFred Nyenje asobole okuwangula ekifo kino NRM ereme kukyeddiza.
Muwonge agamba nti ekimujje mu lwokaano kwekukizuula nti Julius Bulegeya owa NRM alina amaanyi mangi kwekusalawo okwegatta bawe munna NUP.
Ayogerera ekibiina kya DP e Bukomansimbi Muhammad Matovu Kigongo
agamba nti bakanyizza era tewali nsonga ebasigaza mu kalulu NRM ebawangule.
Abavuganya ku kifo kino kuliko Fred Nyenje owa NUP, Andrew Mutebi Independent, Lukoda Hassan Independent, ne Julius Bulegeya NRM