Omuyizi w’ekibiina ekyokuna ku ssomero lya Nyamitanga Primary school e Sembabule atomeddwa mmotoka nemuttirawo
Musa Ssekandi y’atomeddwa ttipa namba UAU 803C ebadde eva e Nyamitanga okudda e Ntusi nga era okusinziira ku taata w’omugenzi Muhamad Kalanzi mutabaniwe abadde adda waka okuva mu katawuni ke Nyamitanga gy’abadde agenze okugula ebintu.
Kalanzi agamba bafunye entiisa oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti mutabani waabwe atomeddwa mmotoka ebadde yetisse ebizimbisibwa.
Aduumira poliisi ye bidduka e Masaka James Tebaijuka akakasizza akabenje kano era n’ategeeza nti kavudde ku kuvugisa kimama.
Tebaijuka agamba poliisi kati eri ku muyiggo gwa dereeva wakimotoka kino eyabinyise munsuwa amangu ddala nga amaze okukola akabenje kano.