Skip to content Skip to footer

Baziikudde entaana

Abatuuze ku kyalo Lwanyonyi  mu gmbolola ye Nama mu district ye Mukono bawunikiridde bwebagudde ku ntaana eyazikuddwa nga keesi nebisigalira byatwaliddwa abantu abatanategerekeka.

Omugenzi ategerekese nga Nyayiti nga kigambibwa yazikibwa mu poloti ya mutabani we wabula nga mu kiseera kino waliwo enkayaana ku ttaka lino oluvanyuma lw’okutunda eno awabadde amalaalo.

Bbo abantu babulijjo babadde balumiriza omusajja ategerekese nga Kato omutemi w’embizzi eyagula ka poloti kano mbu abadde nga alabula eyamuguza mutabani womugenzi, ajjewe omufu we ky’abadde tanakola.

Basuubiriza nti yeyajjeeyo ebisigalira byomugenzi nabaako wabisuula.

Kati omuyiggo gwomusajja ono gutandise .

Leave a comment

0.0/5