
Abatuuze mu kabuga ke Nasuuti e Mukono bakkakkanye ku mubbi wembuzi nebamukuba emiggo nebamuyiira amafuta nga bagala kumwokya wabula poliisi nemutaasa.
Omusajja ono atategerekese abadde ne banne basatu nga kigambibwa nti babbye embuzi ssatu okuva ku kyalo Naalya mu gombolola ye Nama nebaazikweka mu kamotoka akekika kya Corona namba UAE196/E nga bazze babamuwondera.
Babadde bazambazza engoye okubuzabuza.
Abalala badusse naye omu akwatiddwa era alabye byononese oluvanyuma lwokumukuba n’addukira mu kayumba ke ssundiro lyamafuta okumpi gyebamukwese okutuusa poliisi w’etuukidde.
Nanyini mbuzi Nalongo Jane alumirizza ababbi bano okuba nga bebabba nente ye wiiki ewedde.
Omukwate addusiddwa mu ddwaliro lya Mukono Health Centre 4 g’yajanjabibwa oluvanyuma poliisi emuvunane.