KYOTERA
Bya Malikh Fahad
Entiisa ebutikidde abatuuze be Kyotera omwana owemyaka 15 bwakubuiddwa amasanyalaze nafa.
Omugenzi aterekese nga Marvin Kateregga ngabadde asoma ekyokutaano ku ssomero lya Kyakuduse Primary school ku kyalo Kyotera mu district ye Kyotera.
Ssentebbe we kyalo Kyakuduse, Joseph Kayiwa omugenzi alinnye ku waaya yamasanyalaze ebadde ensusumbule, ebadd egatta amasanyalaze ku balilwana.
Kati ekitongole kyamasanyalaze ekya UMEME mu kitundu kitegezezza nti abantu bangi ababba amasanyalaze mu kitundu.
Atwala poliisi ye Kyotera, Patience Baganzi akaksizza akabenje kano, nalabula abantu okwewala okubba amasanyalaze.
Bino okubaawo nga wakayita omwezi gumu, omwana era bweyakubwa amsanyalaze mu bitundu bye Lwengo.