Skip to content Skip to footer

Ba Kansala Bonoonye Ebizimbisibwa

MUKONO

Bya Ivan Ssenabulya

Ba kansala ku lwa district ye Mukono balumbye ekifo kyebagamba nti kyawambibwa okuva ku ttaka lye’kitebe kya district, nebatandika okujjayo ebizimbisibwa ebibadde byatereddwawo.

Ekifo kino kirinanye ekittebbe kya district ngakuliira eby’obulamu mu munisipaali eye Mukono Dr. Anthony Konde agamba nti yakiguula okuva ku bukulembeze obukadde obwali bukulemberwa Francis Lukooya, abakulembeze abaliwo kyebawakanya nti lino ttaka lya gavumenti.

Abakiise nga bakulembeddwamu akuliira ebyo’bulamu ku lukiiko lwa district olufuzi, Samalie Musenero bategezezza nti bali ku biragiro bya ssentebe Andrew Ssenyonga ne akulira abakoozi ba gavumenti George Ntulume.

Omusenyu ogwabadde guyiriddwa, amabbulooka nbiralala bayoddewo, nebalagaira abantu okujja okubyetwalira ku bwerere.

Dr. Anthony Konde tasoodde kubaako kyayogera wabula azze agamba nti ekiffo kino yakigula nga baliko emirimu gyekibona kyobwanayewa gyebagenda okukolerako.

Leave a comment

0.0/5