Bya Ivan Ssenabulya
Abagoba bebidduka mu kibuga kye Mukono balazze okutya olwekibba namba puleeti zemotooka ekyeyongedde mu kitundu.
Okwemulugunya kuzze kweyongera mu bagoba be mmotoka, nga bgamba waliwo abababbako namba pulate, oluvanyuma nebabasaba ensimbi okuzbaddiza.
Bbosa Moses nga yoomu ku bakosedwa agambye yabbiddwako namba pulate ye mmotoka ye, wabula abakola kino tebamanyikiddwa wabula baleka wo ebibaluwa ebibatisatiisa nokubasaba ensimbi.
Kino bagamba kitadde obulamu bwabwe mu matigga nokwerakirira.
Omuddumizi wa poliisi Mukono Rogers Seguya ategezezza nti bagenda kwongera oknonyererza ku kwemulugunya kuno.