Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Omoro etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku musajja, Kony Innocent owemyaka 26 nebamutwalako ne mmotoka ye.
Obutemu buno bwabadde ku kyalo Abwoga-tegali mu gombolola ye Ongako mu district ye Omoro.
Ono kigambibwa nti yalumbiddwa abazigu ngavuga nebamutema ekyambe ekyoji tebabba mmotoka ye namba UEX 590/W.
Omwqogezi wa poliisi mu kitundu kya Aswa Jimmy Patrick Okema, agambye nti omugenzi basoose kumuddusa mu ddwaliro lye Lacor gyamaze nassiza ogwenkomerero.
Poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso.