Amawulire

Abaana abaali bawambiddwa babayimbudde

Abaana abaali bawambiddwa babayimbudde

Ivan Ssenabulya

July 22nd, 2019

No comments

Bya Prosy Kisakye

Abayizi 2 abe ssomero lya Ntugamo P/S town council Butogota mu district e Kanungu abaali bawambiddwa, bayimbuddwa oluvanyuma lwabazadde baabwe okusasula omusingo ogwobukadde 2.

Akim Niwagaba owemyaka 13 ne Ramathan Ayinamani owemyaka 10 bawambibwa bwebaali bagoba ebinyonyi mu muceere, ne maama waabwe Joslyne Ampeire.

Maama agamba nti yalaba abasajja 2 nga bambadde ebyambalo byamagye nga bebagalidde ne mmundu, abawamba baana be.

Oluvanyuma babatwala munda mu gwnaga lya Democratic Republic ya Congo.

Kigamabibwa nti aba-Congo ddala bebawambye abaana bano nebasaba omusingo gwa bukadde 4 wabula mu kwegayirira nebabakendereza okudda ku bukadde 2.

Kati omowgezi wa poliisi mu bitundu bya Kigezi Elly Maate agambye nti bano baabadde bakozesa, bumessag ku ssimu, okutuuka okuyimbula abaana bano.