Bya ben Jumbe.
Police etegeezeza nga bwetongozezza ebikwekweto ku motoka zi ganyeganya ,ezimanyidwa nga DMC,era nga kati buli agirina wadembe okugirekka ewaka oba okugifuula akayumba k’enkoko
Bino bigidde mukaseera nga obubenje ku nguudo bwongedde okutaama, nga ne gy’ebuvudeko waliwo banansi ba Tanzania 12 abaafira ku luguudo lwe Masaka.
Twogedeko n’aduumira Police y’ebiduka Dr Stephen Kasiima n’agamba nti ebikwekweto bino bigenda kutandika mu bwangu dala, era nga emisanvu gy’akutekebwa ku ngudo zonna empavu.
Kati ono mungeri yeemu asabye n’abasabaze obutasirika busiriisi bavugibwa mu motoka ez’obulabe.