Skip to content Skip to footer

Polisi eggadde enguudo eziyita ku palamenti.

Bya Ivan Ssenabulya

 

Police etegeezeza nga bwegadde enguudo zonna ezetolola parliament, nga kino ekikoze  kwewala bantu abayinza okuleeta emitawaana ku okumpi ne parliament.

Aduumira police mu Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa  agamba nti baakitegedeko nti waliwo abantu abaagala okwekalakaasa  nga bwebaakola sabiiti ewedde parliament bweyali etegeka  okuwulira ekiteeso eky’ekomo ku myaka gyomukulemebeze we gwanga

Ono agamba nti abantu bonna abatali babaka ba parliament nga bakozesa enguudo eziyita ku parliament bagwana bakozese endala kubanga zino zigaddwa

Enguudo ezigaddwa kuliko Kimanthi Avenue, Parliamentary Avenue, Dewinton ne Nile Avenue.

Leave a comment

0.0/5