Abavubuka bakubiriziddwa okujjukira Katonda mu buli kyebakola n’okukola enyo mu ensi eno.
Buno bwebubadde obubaka bwa Faaza John Mugabo akulembeddemu emisa y’okusabira omwoyo gw’omugenzi Emmanuel Mayanja banji gwebamanyi nga AK47 wali ku ekeleziya y’abakatouliki e Lweza.
Faaza omugenzi amunyonyodde nga abadde n’ekitone era omukozi nga n’enyimba ze nga Nalongo bwezibadde zetikka obubaka eri bannayuganda.
Abamu ku bakungubazi kubaddeko ab’enyumba y’omugenzi , abawagizibe ssaako nebayimbi banne okubadde Iryn Nmubiru n’abekibiina kyakatemba ekya Ebonies.
Omulambo gw’omugenzi kati guli mu maka ga kitaawe Gerald Mayanja e Seguku Katale nga olunaku olwenkya gwakutwalibwa ku kyalo Busaato e Kalangalo mu disitulikiti ye Mityana omugenzi gy’agenda okuzikibwa.