Abayizi ba zi yunivasite balabuddwa obutakkiriza kukozesebwa bannakigwanyizi ababakumamu omuliro okwekalakaasa.
Bw’abadde ayogerako eri abayizi abekalakaasa ku ttendekero lya Busoga University, amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Lameka Kibikyo ategezezza nga bwewaliwo amakubo omutali buvuyo agasobolwa okuyitibwamu okugonjoola ensonga.
Abayizi ku ttendekero lino bavudde mu mbeera nebekalakaasa nga bawakanya eky’okubongeza fiizi.
Wabula Kibikyo abakakasizza nga fiizi zino bwezitagenda kukosa bayizi bakadde nga zakutandika okukola ku bayizi abapya mu lusoma olujja.
Ono era alumiriza nga bwewaliwo abasomesa abakuma omuliro mu bayizi bano okwekalakaasa.
Abayizi besaze omuguje lwabisale kwongezebwa okuva 417,500 okutuuka ku 1,109,500 nga n’abasomesa balabikako balirirwe, tebalina ndaga Muntu za ttendekero n’amabaluwa agabakakasa tegabaweebwanga.