Skip to content Skip to footer

Eyasobwa ku mwana asibiddwa emyaka 21.

Bya Ruth Anderah.

Waliwo omugoba wa boda boda avunaniddwa gwa kwekakaatika ku kaana akawala akato n’akasiiga akawuka akaleeta mukenenya.

Kayondo David asomeddwa omusango mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Jane Francis Abodo amuwadde ekibonerezo kyakukola busibe mu kkomera e Luzira okumala emyaka 21.

Kigambibwa nti omugoba wa boda ono yasobya ku mwano bweyali agenze okumukima ku ssomero wabula yamuvuga amutwala mukazigoke n’amusobyako.

Omusango yaguza mu mwezi gwa May 2015 mu Suzana zone e Nakulabye Rubaga division wano mu Kampala.

 

Leave a comment

0.0/5