Bya Ben Jumbe.
Abakulu mu kibiina kya NRM bategeezeza nga nabo emitima, bwegibewanise oluvanyuma lw’abantu abatanamanyika okugezaako okulumya pulezident we gwanga.
Bwabadde ayogera ne banamwulire , omumyuka wa ssabwandiisi w’ekibiina kya NRM Richard Todwong avumiridde ebikolwa bino nagamba nti ekikolwa kino musango gwa naggomola .
Ono era alumirizza ab’oludda oluvuganya gavumenti, okusosonkereza poliisi, n’okulumbagananga ab’ekibiina kya NRM kyagamba nti kyekivuddeko abantu okufiranga mu ckakuyege.
Todwongo agambye nti abantu nga bano, bandiba nga bebaali n’emabega w’okutemula eyali omubaka w’ekitundu kino, Ibrahim Abiriga.