
Poliisi mu kibuga Mbarara y’akubye omukka ogubalagala mu bawagizi b’eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye.
Abawagizi ba Besigye baabadde bajaganya olw’enkungaana omuntu waabwe zeyakubye mu kunonya akalulu ku ani anakwatira ekibiina kya FDC bendere mu kulonda kwa 2016.
Kino kyaggye poliisi mu mbeera n’ekuba omukka ogubalagala okusobola okubagumbulula.
Olwokaano lw’okukwatira FDC Bendere lurimu abantu 2 okuli Besigye ne ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj. Gen. Mugisha Muntu.