Omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barrack Obama asuubizza nga gavumenti ye bw’egenda okwongera okuwagira olutalo ku batujju.
Nga ayogerako eri namunji w’omuntu ku kisaawe kye Kasarani mu kibuga Nairobi, Obama y’ategezezza nga bwebasobola okuwangula abatujju nga bali wamu.
Ono era y’avumiridde ekikolwa ky’okutulugunya abakayala n’obutabanguko mu maka nti tebirina kifo ku kiseera kino eky’obugunjufu.
Obama y’ategezezza nti amawanga okulemererwa okusomesa omwana omuwala kiviiriddeko amawanga okusigala emabega mu by’obufuzi.
Obama y’atuuse dda mu ggwanga lya Ethiopia gy’agenda okwogerako eri abakulembeze b’amawanga ga Africa okuteesa ku lutalo munda mu ggwanga lya South Sudan.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni naye mutaka mu Ethiopia .