Skip to content Skip to footer

Olukiiko lwa Mbabazi ne NRM lugudde butaka

File Photo: Mbabazi nga buza Museveni
File Photo: Mbabazi nga buza Museveni

Olukungaana olwayitiddwa wakati w’akakiiko akateekebwawo olukiiko olw’okuntikko olufuga ekibiina kya NRM n’eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi akawungeezi k’eggulo terwavuddemu kalungi.

Amawulire getufunye galaga nti buli ludda lwalemeddwa okuwulira okusaba kw’olulala.

Kigambibwa nti Mbabazi yegaanyi okuyimiriza enteekateeka ze ez’okwesimbawo ate n’akakiiko nekagaana okukyuusa mu mateeka agafuga okulonda kw’ekibiina.

Mu kiwandiikoa ekifulumiziddwa omwogezi wa Mbabazi,Josephine Nkangi, Mbabazi ategeezezza akakiiko ng’amateeka agaayisibwa okutambuzibwako akamyufu k’ekibiina bwegagenderera okumukugira okwesimbiwo okukwatira ekibiina kya NRM bendera mu kulonda kwa 2016 wamu n’okwesimbawo ku bya ssentebe wa ssentebe bw’ekibiina.

Getwakafuna galaga nga Mbabazi bw’agenda okwevumba akafubo nebannamateeka be akadde konna okulangirira ekiddako.

Leave a comment

0.0/5