Skip to content Skip to footer

Awonye okwokyebwa

File Photo: Abuntu nga bakuuba omubbi
File Photo: Abuntu nga bakuuba omubbi

Poliisi ye Seeta Nazigo ekubye amasasi mu bbanga okutaasa ababbi b’ente bebabadde bagenda okwokyebwa abatuuze.

Kigambibwa nti Kamya Peter ne Kasule Micheal abatuuze mu Lubugo babbye ente 2 okuva mu bitundu bye Namayiba mu gombolola ye Nakisunga, wabula abatuuze babawondedde nebakwatira e Seeta Nazigo akawungeezi akayise.

Poliisi ng’eduumira Agnes Akol weyatukidde ng’abatuuze bamaze okusiba emiguwa wamu n’okubatekera ebibiira.

Atwala okunonyereza ku buzzi bwemisango Were Sam agambye bagenda kwongera okunonyereza ku babbi bano era bagulweko emisango.

Leave a comment

0.0/5