Skip to content Skip to footer

Teri kwongezaayo kujjawo foomu

File Photo: Mbabazi ngali ku kiteebe y kya NRM
File Photo: Mbabazi ngali ku kiteebe y
kya NRM

Akakiiko k’ekibiina kya NRM akalondesa kategeezezza nga bwekatagenda kwongezaayo nsalesale w’okujjayo foomu z’okusunsulibwa kw’abagenda okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo.

Okugyayo empapula zino Kukomekerezebwa wiiki eno nga kwatandika nga 14 nga era kwakuggwa nga 31 July.

Bannakibiina abasoba mu 1500 bebakagyayo empapula z’okwesimbawo nga okusinga abaagala okukiika mu palamenti n’obwa ssentebe bwa disitulikiti bebasinze okugyayo empapula zino.

W’akakiiko k’ebyokulonda ka NRM  Dr.Tanga Odoi agamba okugyako nga akakiiko k’ekibiina akafuzi kakyusizza mu nteekateeka eno ssibakwongezayo nsalesale wa nga 31 omwezi guno.

 

Leave a comment

0.0/5