
Abantu 13 bafiiridde mu bulumbaganyi bwa bbomu etegeddwa mu woteeri emu mu kibuga Mogadishu mu ggwanga lya Somalia.
Bbo abasoba mu 40 babuuse n’ebisago ebyamanyi mu woteeri ya Jazeera Palace.
Abakambwe ba Al shabab bewanye nga bwebabadde emabega w’obulumbaganyi buno era nebategeeza nga bwebabadde besasuza oluvanyuma lw’amagye g’omukago gwa Africa okulumba enfo zaabwe.
Bbomu zino zibwatuse omukulembeze w’eggwanga lya Amerika kyaggye ave mu ggwanga lya Kenya gy’abadde ku bugenyi.