
Abakulembeze b’ekibiina kya Democratic Party basabye banaabwe abaamegeddwa mu kalonda abakulembeze b’ekibiina kino okwerabira enjawukana begatte batwale ekibiina mu maaso.
Eyakaddamu okulondebwa ku bwa ssabawandiisi bw’ekibiina kino Matia Nsubuga agamba kati betaaga kuddamu kuzimba kibiina nga betegekera okulonda kw’omwaka ogujja.
Nsubuga agamba yadde nga waliwo abagamba nti okulonda tekwabadde kwamazima, buli kimu kyatambudde bulungi awatali kyekubira yenna.
Bannakibiina kya DP abasoba mu 1700 betabye mu ttabamiruka w’okulonda obukulembeze obuggya wali e Katoomi ku wikendi.
Norbert Mao y’amezze Lulume Bayiga okweddiza obwa ssenkaggale bw’ekibiina,