File Photo: Aba Democratic Party
Abakulembeze b’ekibiina kya Democratic Party basabye banaabwe abaamegeddwa mu kalonda abakulembeze b’ekibiina kino okwerabira enjawukana begatte batwale ekibiina mu maaso.
Eyakaddamu okulondebwa ku bwa ssabawandiisi bw’ekibiina kino Matia Nsubuga agamba kati betaaga kuddamu kuzimba kibiina nga betegekera okulonda kw’omwaka ogujja.
Nsubuga agamba yadde nga waliwo abagamba nti okulonda tekwabadde kwamazima, buli kimu kyatambudde…
