Skip to content Skip to footer

Obwakabaka buwakanyizza alipoota

Bya Shamim Nateebwa

File Photo: Mayega nga yogera

Obwakabaka bwa Buganda buwakanyizza alipoota eyekiseera eyafulumiziddwa, akakaiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo gye ttaka.

Bino bibaddewo amagombolola, Makulubita ne Nnyimbwa bwegakiise embuga mu nkola eya Luwalo Lwaffe mwebetekidde ettu lya bukadde 3.

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga bwabadde abatikkula agambye nti, obwakabaka tebukkiriziganya na byafulumiziddwa mu alipoota y’akakiiko komulamuzi Catherine Bamugemereirwe nga bawabudde nti enkola y’okugaba ebyapa bya mailo land esaana ewerebwe.

Bino Katikkiro abiwakanyizza nagamba nti kino kigendereddwamu kunafuya bwakabaka bwa Buganda.

Owembuga agamba nti ensonga ezisinga okuvaako enkayana ze ttaka kuliko, obunafu bwa police mu kunonyereza, okulinnya mu miwendo gy’abantu mu gwanga, kooti okulwawo okusala emisango egy’ekuusa ku ttaka, ettaka okukaddiwa n’endala nnyingi.

Abasabye babeera begendereza nga bogera ku nsonga ze ttaka.

Leave a comment

0.0/5