Bya Ivan Ssenabulya
Entekateeka zokuziika abalongo ba minister omubeezi owamazzi era omubaka wa Mukono North, Ronald Kibuule zigenda mu maaso.
Abaana bano Roman Kato ne Raiding Wasswa ababadde baweza emyaka 2, baagudde mu kidiba ekiwugirwamu ewaabwe e Mbalala akawungeezi akayise.
Mu kusooka badusiddwa mu ddwaliro lya Sir Albert e Mukono, gyebakabatemedde nti bafu, era oluvanyuma emirambo gyatwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwekebejjebwa.
Okusinziira ku taata wa Kibuule omuto Davis Lukyamuzi, oluembe lugenda kukumibwa mu maka ga kitaabwe minister wali e Mbalala olwaleero, atenga okuziika kwakubaawo olunnaku lwenkya ku bijja byabajajjaabe ku kyalo Kapeke.