Skip to content Skip to footer

Mbabazi talutumiddwa mwana ewa Kyabazinga

File Photo: Mbabazi ngali mukalulu
File Photo: Mbabazi ngali mukalulu

Emikolo gy’okukuza nga bwegiweze emyaka 2 bukyanga Kyabazinga wa Busoga Gabula Nadiope alondebwa giyimiriddemu oluvanyuma lw’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi okujabuulira

Mbabazi yayimirizzaamu kampeyini ze okusooka okwetaba ku mikolo gino kyokka nga gibadde gikyagenda mu maaso, n’asituka okweyongerayo ne kkampeyini ze .

Abantu ababadde ku mikolo naddala abavubuka olumulabye ng’ayimuka nebamugoberera ekikyankalanyizza emikolo

Emikolo gino mpozzi gyetabiddwaako ne sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga nga giri ku butikkiro e Bugembe

 

Banne abalala bakyawenja akalulu mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.

Akutte bendera ya FDC Dr Kiiza Besigye olwaleero ali mu district ye Abim oluvanyuma lw’okukomekkereza kampeyini ze e Kotido olunaku lwe ggulo.

Mungeri yeemu Ekibiina kya  FDC bongedde okubunya kawefube webibinja byabantu e 10 abagenda okulondoola ebyokulonda nokukuuma akalulu kaabwe.

Leave a comment

0.0/5