Skip to content Skip to footer

Bwanika wakuzza omulambo gwa Amin

File Photo: Abed Bwanika owa PDP ngali mukalulu
File Photo: Abed Bwanika owa PDP ngali mukalulu

Eyesimbyewo kubwa namunigina okuvuganya kubwa president professor Venacious Baryamureeba akyusizza mu nkola yokunoonyamu akalulu okuva ku nkola yokukuba enkungaana.

Ono kati abantu abalumba mu bifo gyebakolera, nga kino kyalabiddwako ngali e Kyenjojo, Kabarole, Ntoroko nemu districts ye Bundibugyo.

Bwabadde ayogerakop ne banamawulire mu woteeri ya Tooro royal cottages mu Kabuga ke Kyenjojo, Baryamureeba agambye kyangu okwogera nabantu mu butale nemu maduuka nga bwebekolrra emirimu gyabwe.

Eno asubizza okuzimba amasomero amalungi nkuteeka amaanyi mu bibiina byobwegassi.

Yye nno Dr Abed Bwanika asuubizza okuzza ebisigalira by’eyali pulezidenti Idi Amin dada okuziikibwa mu bitiibwa ebimusaanira

Bwanika bw’abadde mu bitundu bye Koboko agambye nti Amin yakolera bingi eggwanga lino ng’okuleka omulambo gwe ebweru ssi kirungi

Bwanika era asuubizza okwongera okuwagira ebyobulimi mu kitundu okusobola okusitula embeera z’abantu

Leave a comment

0.0/5