Skip to content Skip to footer

Abasunsuddwa balabuddwa ku mateeka

File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye
File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye

Akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Masaka alabudde abasunsuddwa okuganya bubaka bwa palamenti obutatandika kampeyini ngobudde tebunatuuka.

Nathan Nabasa agamby abamu batandise dda atenga tebanakaanya naku ngeri kampeyini gyezirina okukwatibwamu.

Ategezezza nti kino kimenya mateeka nasaba bonna okuleeta entekateeka zaabwe mu butongole obutasukka ku Bbalaza.

Abantu 18 bebakaksiddwa okuvuganya ku biffo byokukiika mu palamenti e Masaka nga Bukoto Central yesinamu abegwanyiza ebiffo abawera okuli aba DP, FDC, NRM nabesimbyewo ku bwabwe.

Leave a comment

0.0/5