Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Namayingo eriko omusomesa nga kigambibwa, yakidde omuyizi we owemyaka 14 namusobyako.
Omukwate wa myaka 23 nga musomesa ku ssomero lya Dohwe P/S mu gombolola ye Buhemba.
Omuddumizi wa poliisi mu district eno Geoffrey Egwanga, mutuuze ku kyalo Shanyonja mu gombolola ye Buyinja e Namayingo.
Poliisi etegezza ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.