Skip to content Skip to footer

Eyabbye emitwalo 20 bamusindise mu nkomyo

Bya Ruth Anderah

Omuvubuka ow’emyaka 23 asindikiddwa mu kkomera e Luzira ajira yebakayo lwakubba emitwalo makumi 20.

Jangeanbe Davidson asimbiddwa mu kooti ya city hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisoka, Patrick Talisuna amusomedde omusango gw’omubbi nagwegaana.

Kigambibwa omuvunanwa nga muyizi n’abalala abatanakwatibwa nga March 10th 2019 ku  Bukoto Streat e Kamwokya yabba ensimbi emitwalo 20 okuva ku Chanwat Rogers.

Kati wakudizibwa mu kooti nga March 27th omusango gutandike okuwulirwa.

 

Leave a comment

0.0/5