Bya Damalie Mukhaye
Ettendekero lye Makerere ligenda kuttikira abayizi abasoba mu mutwalo 1 mu 3,000 abafundikidde emisomo gyabwe, mu mwaka gwebyensoma guno 2020/2021.
Okusinziira ku academic registra, we’Makerere Alfred Masikye amattikira gano gaakutandika ku Bbalaza nga 17 May, gakulungule ennaku 5 okutuuka ku lunnaku Lwokutaano nga 21 21 May 2021.
Wabula amattikira gano gatekeddwa mu nkola ya sayantifiki, ngabantu bantono abajja okugetabako, wakati mu kugoberera amateeka nebiragiro ku kirwadde ya ssenyiga omukambwe.
Abayizi ababadde basoma amateeka, ebyobulamu, naba College of Natural Science bebagenda okuttikira ku Bbalaza.
Mungeri yeemu, amawulire amalala agava ku ttendekero, Makerere balina obwetaavu bwebikozesebwa okusobola okufulumya transcript oba ebiwandiiko byobuyigirize.
Bino webijidde ngebula mbale, okutuuka ku lunnaku lwamattikira, agomulundi ogwe 71.
Abomunda batubuliidde nti, abakulu batuula obufofofo, nga waliwo bingi ebitanafunika okusobola okufulumya empapula zobuyigirize.