Skip to content Skip to footer

NUP begaanye eby’okwerayiza

Bya Juliet Nalwooga

Abavuganya gavumenti mu kibiina kya National Unity Platform bawakanyizza ebyogerwa abebyokwerinda nti balina entekateeka okutegeka emikolo gyokulayira egyabwe.

Bino webijidde nga Robert Kyagulanyi Ssenteamu akaulembera ekibiina kino, akyawakanya ebyava mu kulonda kwa bonna okwaliwo nga 14 January, agamba nti yeyakuwangula.

Mu lukungaana lwabananwmulire olwatudde olunnaku lwe ggulo, omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga yagambye nti balina amwulire amekusifu, ku bino aba NUP byebatekateeka.

Ono yagambye nti batekateeka omukolo guno, okutuuza mu woteeri emu e Iganga.

Wabula omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi bino abiwakanyizza, agambye nti ubasibako matu ga mbuzi, abebyokwerinda okusobola okuyisaawo ebigendererwa byabwe.

Leave a comment

0.0/5