Bya Ritah Kemigisa
Obukulembeze bwabasawo abazalisa bayite ba Nurse neba Midwive bakwowodde abasawo okudda ku mirimu.
Kino kyadiridde gavumenti okweyama okubawa ensako yekyemisana, gyebabanja eyobuwumbi 45.
Pulezidenti wekibiina ekigatta abasawo bano Justus Cherop agambye nti basisinkanye, minisita ku nsonga eno nebeyama okubasasula.
Bano okuyita mu kibiina kyabwe Uganda Nurses and Midwives Union wiiki ewedde bateeka wansi ebikol, nga babanja era bali balayidde obutadda ku mirimu okutuusa nga ssente ezo zitekeddwa mu mbalirirra eyomwaka gwebyensimbi 2021/22.
Gavumenti yabasubizza okubawa ekyemisana kya mutwalo 1 buli musawo, buli nnaku 22 wabula kino, kyawukana ku mutwalo 1 nekitundu omukulembeze we’gwanga zeyali yabasubiza.
Okusinziira ku minisita avunayizibwa ku bujanjabi obusokerwako Dr. Joyce Kaducu, ssente endala zakutekebwa mu mwaka gwebyensimbi ogujja 2022/23.
Wabula bino, webijidde nga nabasawo abakyayiga, mu kibiina ekibagatta Federation for Uganda Medical Interns balanagiridde akediimo kaabwe, nga bagenda kuteeka wansi ebikola okuva nga 17 May 2021, nga babanja gavumenti enyongeza ku midsaala gyabwe.