Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Kapchorwa eriko omujaasi wegye lye gwanga erya UPDF, gwegalidde oluvanyuma lwokukuba abantu babulijjo amasasi 3, nabalumya.
Ashraf Cherangati owemyaka 32 kigambibwa nti yadduka ne mmundu okuva mu nkambi yamagye e Nakapiripiriti wiiki ewedde, wali mu kabuga ke Kapchorwa.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Sipi, Rogers Taitika akaksizza okukwatibwa kwono, ngokunonyereza kugenda mu maaso.
Bbo abakubiddwa kati bajanjabibwa mu ddwaliro e Kapchorwa.