Bya Kyeyune Moses, Ritah Kemigisa ne Damalie Mukhaye
Gavumenti ye gwanga lya Rwanda ewakanayizza ebyogerwa ginaayo eya Uganda nti baggala ensalo ye Katuna-Gatun, ekivuddeko obunkenke wakati wamawanga gombi.
Bwabadde ayogereraamu lukungaana lwabanamwulire olutudde mu kibuga ekikulu Kigali e Rwanda, minister we gwanga lino owensonga ze bweru we gwanga Richard Sezibera, ayongedde nakakasa nti bbo kyebaliko, kwekudabiriza ensalo yaabwe ne Uganda, nga tewaliiwo nsonga ndala yonna ekusikiddwa.
Sezibera agambye banamwulire nti emirmu egikolebwa egyokuzimba, gyegikosezzaamu ebyentambula.
Mungeri yeemu Rwanda eyongedde eokunenya Uganda olwokutondawo obunkenke.
Richard Sezibera ayongedde okulumiriza Uganda okukwatanga abanya-Rwanda okubatulugunya, ate nokukweka abayekera abagala okusuula gavumenti efuga.
Ono agambye nti waliwo bannansi baabwe 900 bebazizaayo, mungeri etali ya makaubo balambulukufu, atenga abali mu 190 babagalaidde mu buddukulu wano Uganda okumala kati emyaka 2.
Wabula agambye nti mu bino byonna tewaliiwo byebananyonyola ebimtiza.
Wabula gavumenti ya Uganda nayo esambazze ebyogerwa Rwanda, nti bakwata abanatu baayo okubagalira anokubataulugunya.
Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategezezza banamawulire amakya ga leero, nti ebyogerwa tebabaimanyiiko.
Agambye nti bagenda kwongera okuteesa okuyita mu ministry yensonga ze bweru we gwanga, okutuuka ku kukaanya.
Opondo agambye nti ebyentambula bigenda bitereera, bwebagudde ensalo ye Mirama.
Ate abasubuzi abakoseddwa mu butakanya wakati wamawanga gombi, basabye nti amateeka gegaba gayitwamau okuzza embeera mu nteeko.
Kati ssentebbe wa KACITA Everest Kayondo agamba nti Rwanda yetaaga kubonereza, olwokumenya amateeka gobwegassi, mu mukago ogwa EAC.