Bya Abubaker Kirunda
Omusajja owemyaka 55 asimattuse okutibwa abatuuze ku kyalo Nakirulwe mu gombolola ye Nawaningi e Iganga, nga kigambibwa nti bamsusanze asobya ku kaana akemyaka 6.
Ssentebbe we kyalo Abbas Pamba yatasizza omusajja ono, era namuwaayo mu mikono gya poliisi.
Ono bamusanze manju we nyumba yokaana kano, ngakamalirako ejakirizi, wabula yewozezaako nti abadde atamidde, nga tamanyi kigenda mu maaso.