
Mu ggwanga lya Bungereza, omusajja eyefuula nti alina amaanyi g’ejawulo n’akozeesa akakisa kano okukaka abakyala omukwano gumusse mu vvi
Aravindan ow’emyaka 75 yatulugunya nga abagoberezi be ate nga yye muwala we eyali awakanya by’akola yamuggalira mu nju okumala emyaka 30 okwo kw’ossa n’okumutulugunya.
Ono asingisiddwa emisango gy’okukwatirira abakyala, okubakaka omukwano, okubatulugunya n’okubatusaako obulumi
Omusajja ono yakwatibwa oluvanyuma lw’omu ku beyatulugunya nga wa myaka 16 okumuloopa