Bya Ivan Ssenabulya
Abobuyinza mu muniapaali eye Mukono bategezeza nti bafunye obuuma obugenda okupimanga ebirekaana mu kibuga.
Mayor we Mukono George Fred Kagimu ategezezza nti ebikeesa byendingo byonna sssi byakukirizibwa okusukka essaawa omukaaga.
Ate abasaba ekiro nabo ssibakukirizibwanga okusukka essaawa omukaaga, atenga abalanga ebindongo nebivvulu tebajja kukirizibwa kubeera okumpi namasomero yadde amalwaliro.
Agambye nti kino kigendereddwamu okufuula Mukono ekibuga ekirungi.