Skip to content Skip to footer

Kitatta bamusibye emyaka 8 emyezi 8 ne nnaku 6

Bya Ruth Anderah

Eyali omuyima wa boda boda 2010 Abdallah Kitatta kooti yamagye emuwadde ekibonerezo kyakukola busibe, okumala emyaka 8 nemyezi 8 saako ennaku 6.

Ate eyali omukuumi we Sowali Ngobi,awereddwaq ekibonerzo kyakukola busibe okumala emyaka 8 nemyezi 8 saako ennaku 6.

Kooti eno eyabalamuzi 7 etuula e Makindye, ngekubirizibwa Lt Gen Andrew Guti, egambye nti abantu bano guno gwegubadde omulundi gwabwe ogusoose okuzza omusango, kooti kwekubaberera eyekisa.

Wabula balagiddwanti bwebaba ssi bamativu ba ddembe okujulira mu nnaku 14 zokka.

Babiri bano olunnaku lwe ggulo baasingisddwa, emisango gyokusangibwa n’ebyokulwanyisa mu bukyamu.

Kati bawereddwa ekibonerezo kya myaka 10 wabulanga bajidwako ebbanga lyebamaze ku alimanda mu kkomera nga bawoza.

Oludda oluwaabi lugamba nti bano baasangibwa ne mmundu kika kya basitoola ne lwasa mayinja kika kya SMG, ngerimu masasai amakumi 35, bwebaali bakwatibwa mu febuary womwaka.

Leave a comment

0.0/5