Bya Damalie Mukhaye
Ekitongole kyebibalo mu gwanga, Uganda National Bureau of Statistics olwaleero kigenda kutandika okuwandiika abantu abatekeddwa okuweebwa ku ssente okuva mu gavumenti, ezokwedabulula mu mu muggalo.
Gavumenti yatadde ku bbali obuwumbi 54 n’obukadde 700 kulwentekateeka eno ngamaka emitwalo 50 gegagenda okuganyulwa mu bibuga okuli Kampala nezi munisipaali.
Minisita wekikula kyabantu Betty Amongi yagambye nti minisitule egenda kukolagana n’ekitongole kyebibalo ekya UBOS okuwandiika abantu.
Etekateeka yokuwnadiika era egenda kwetabwamu neba tawuni kilaaka bebitundu, ngamannya gabantu mu bibinja ebyalambikiddwa okuganyulwa oluvanyuma gaakudda ku byalo balabe baani abalekeddwa ebbali babongereko.
Olukalala lwamannya minisita yagambye nti lwakufuluma nga 4 July era bakuweebwa emitwalo 10.
Kati olukiiko lwaba minisita lwakakasizza ebibinja byabantu 16 abali obubi, ba mufuna mpola abagenda okuweebwa ssente.
Mungeri yeemu, abantu abanjawulo abagenda okuganyulwa basiimye ekya gavumenti okubaowozaako.
Ssentebbe owa Uganda Transporter Development Agencies Mustapha Myambala, agambye nti bategezeddwa KCCA baweeyo amannya gaba memba abagoba ba takisi.
DJ Bancs, ngakolera wano ku KFM kino akyanirizza kubaga agamba nti bamaze emyaa kyenkanya 2 nga tebakola.
Abalala Kamya Konde, nga mugoba wa boda boda e Namugongo yye agambye nti babadde tebayogerako nabo ku ntekateeka yonna.