Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole kyensi yonna ekirera ababundabunda ekya United Nations High commissioner for refugees kitegezeza nga bwekigenda okukola okunonyereza, okwakyo ku vvulugu wokubulankanya ensimbi, mu bakungu ba gavumenti ya kuno.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku wofiisi zaabwe amakya ga leero, omwogezi wekitongole Teresa Ongaro ategezeza nti babakaknye dda nokunonyereza.
Ongaro agambye nti bagenda kwekennenya nnyo byonna ebibadde byogerwa.
Bino webijidde nga gavumenti wiiki ewedde yalangiri okunonyereza ku kyoja mumiro ekyogerwako.
Ekitongole kyekimu kiwakanyizza ebigambibwa nti bawumuzza abadde mukama waabwe mu Uganda Bornwell Kantande ebyafulumidde mu mawulire.
Amawulire gabadde galaze nti munansi wa Bufalansa Joel Boutrue yakyusiddwa, olwobunafu mu bukulembeze bwe.
Teresa Ongaro agambye nti Kantande akyaliwo nnyo, ngomukulembeze okutuusa ngokunnyererza kuwedde.