Bya Shamim Nateebwa
Omukazi alumbye bba ku mulimu gy’akolera ng’amusubiriza obwenzi wabula kimubuuseeko bw’amusanze mu nnyumba nga mufu.
Rosemary Asele owemyaka 38, alinnye takisi mu busungu okuva e Tororo n’agenda mu ddwaaliro ly’e Bugiri, bba Dan Anthony Kalumula owemyaka 45, gy’akolera ng’amuteebereza okuba n’omukazi omulala olwokumala ennaku 4 ngamukubira essimu tazikwatta n’alwooza nti ali mu bwenzi.
Abantu bewuunyizza engeri ababadde basula ku nnyumba eno kuba ng’omukazi olwabadde okutuuka n’awulira ekivundu.
Poliisi bwe yagguddewo ennyumba, abantu beewunyizza okulaba nga yafudde afukamidde ku mabbali g’ekitanda ng’essimu agitadde wabbali ng’akutte ne tooci mu ngalo.
Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika.