Skip to content Skip to footer

Aba DP babagumizza

 

File Photo: Aba Democratic Party
File Photo: Aba Democratic Party

Abakulembeze b’ekibiina kya  Democratic Party basabye banaabwe abaamegeddwa mu kalonda abakulembeze b’ekibiina kino okwerabira enjawukana begatte batwale ekibiina mu maaso.

 

Eyakaddamu okulondebwa ku bwa ssabawandiisi bw’ekibiina kino  Matia Nsubuga agamba kati betaaga kuddamu kuzimba kibiina nga betegekera okulonda kw’omwaka ogujja.

 

Nsubuga agamba yadde nga waliwo abagamba nti okulonda tekwabadde kwamazima, buli kimu kyatambudde bulungi awatali kyekubira yenna.

 

Sound Nsubuga katomi eng/ lug

Bannakibiina kya DP abasoba mu 1700 betabye mu ttabamiruka w’okulonda obukulembeze obuggya wali e Katoomi ku wikendi.

 

Norbert Mao y’amezze   Lulume Bayiga  okweddiza obwa ssenkaggale bw’ekibiina,

Leave a comment

0.0/5