Skip to content Skip to footer

Abayizi bakubalibwa mu massomero

Minisitule y’ebyenjigiriza nga eri wamu n’ekitongole ekivunanyizibwa okuwandiisa abantu okufuna endagamuntu ekya National Identification and Registration Authority basuubirwa okutandika okuwandiisa abayizi ku massomero olunaku lwaleero.

Okusinziira ku minisita w’ebyenjigiriza ebisookerwako Rosemary Sseninde, abakulu b’amassomero babadde bateeka ku nkalala abayizi abempewo ekifiiriza gavumenti obuwumbi 20 buli mwaka.

Agamba  baagala kumanya baana bameka bebalina okulabirira ku massomero mu nkola ya bonna basome era y’alagidde dda abakulira abakozi ku disitulikiti bwewabaawo omukulu w’essomero lyonna eyesisigaza agobwe mu bwangu ddala.

Enteekateeka eno yakugendera ddala okutuusa nga 25 August nga era abaana wakati w’emyaka 5 ne 16 bebokuwandiisibwa.

Leave a comment

0.0/5